Bannakyewa batendese abawangalira ku bizinga n'emyalo okwelindamu obubenje bw’okumazzi
Mukaweefube w’okulwanyisa okufiira mu mazzi naddala mu bantu abawangaalira ku bizinga ne ku myalo egyenjawulo e Masaka nga buli lukya wabaawo abagwa mu mazzi ate nga tebasobola kwetaasa - bannakyewa bavuddeyo okulaba nga batendeka abantu bano butya bwebasobola okwerindamu obubenje bw’okumazzi. Essira basinze kulissa ku kuyigiriza bantu bano kuwuga basobole okwetaasa.