Bannayuganda basabiddwa okwongera okolera awamu ne UPDF okulaba nga bakuuma emirembe mu ggwanga
Bannayuganda basabiddwa okwongera okolera awamu ne UPDF okulaba nga bakuuma emirembe mu ggwanga. Okusaba kuno kukoleddwa eggye lya UPDF nga liri mukwetegekera ebikujjuko bya Tarehe Sita eby’omulundi gwa 44. Olunaku lwakukwatibwa mu disitulikiti y’e Kyotera nga ennaku z’omwezi 6 omwezi ogujja.