Bannyini baasi batiisizza okwekalakaasa olw'okulwawo okudaabiriza Karuma
Banyini busi abeegattira wansi w’ekibiina ki United bus owners Association, baweze nga bwe bagenda okuyimiriza entambula za busi zaabwe ezigenda mu mambuka ga uganda okusala omugga , nga kino kidiridde kaweefube w’okudaabiriza omugga Karuma okukandaalirira.
Bano bagamba nti olw’okugaanibwa okuyita ku lutindo luno bekoloobya olugendo luwanvu ddala, ekibaleetedde okukolera mu kufiirwa.
Bbo abekitongole ki UNRA batubuulidde nti omulimu gw’okudaabiriza olutindo luno gwatandise.