E Kiteezi abantu batandise okwamuka enkambi
Ekitongole ki Red Cross kitegeezeza nga omuwendo gw’abantu abasibulwa okuva mu nkambi wegweyongera nga ku bano abasinga baali bapangisa.
Bano beebo abatwalibwa mu nkambi eno oluvanyuma lwa Kasasiro okubuutikira enyumba zaabwe e Kiteezi.
Abantu abafulumye enkambi eno, beebazizza gav’t kwosa n’abazira kisa abavudeyo okubaduukirira.