Entekateeka z'okukuza ameefuga ga 62 ziwedde e Busia
Abakulembeze mu disitulikiti y’e Busia baagala omukulembeze w’egwanga abatemere empenda ezigenda okubagobako obwavu.
Bagamba nti ekitundu kya Bukedi omulu ne Busia kyongedde okweyolekera ku lukalala lw'ebitundu ebikira obwavu.
Abakulembeze babyogeredde ku Kisaawe ky’e Ssomero li Busiho primary teachers collage e Masafu, ewagenda okuba emikolo gy'okujjukira nga bwegiweze emyaka 62 bukyanga Uganda efuna bwetwaze.