Gav’t ekubirizza bannadiini okubakwasizaako okulwanyisa akawuka ka mukenenya mu ggwanga
Gav’t ng’eyita mu kitongole ki Uganda AIDS Commission ekubirizza bannadiini okubakwasizaako okulwanyisa akawuka ka mukenenya mu ggwanga. Egamba ssinga bannaddiini mukubuulira enjiri y’omwoyo bagattamu okusomesa abantu ku ngeri y’okwewala akawuka ka mukenenya kyandiyambako mu mbeera eno. Bano olwaleero basisinkanye abasumba b’abalokole okwongera okubabangula ku kawuka ka mukenenya.