Kabaka ayozaayozezza kalidinaali Wamala olw’okuweza emyaka 30 bukyanga alondebwa ku kifo kino
Ssaabasajja Kabaka ayozaayozezza kalidinaali Emmanuel Wamala olw’okuweza emyaka 30 bukyanga alondebwa ku kifo kino. Omutanda era asiimye kalidinaali olw’emirimu emirungi gy’akoledde ekelezia wamu n’obwakabaka nga kw’otadde n’okumusabira Katonda okwongera okumukuuma. Obubaka bwa Namunswa butuusiddwa katikkiro, Charles Peter Mayiga bw’abadde agenyiwaddeko mu maka ga kalidinaali e Nsambya, olw’eggulo lwa leero.