Minista Babalanda alabudde ba RDC: Temugezako kwenyigira mu bikolwa bya kumenya amateeka
Minisita w’ensonga z’obwa pulezidenti Milly Bbairye Babalanda alabudde ba RDC ab’enyigira mu kutulugunya abantu nga babatwalako ebyabwe gamba nga ekibba ttaka n’ebirala.Ono agamba kyewunyisa RDC okuba omu kwabo abasengula abantu oba ab’onoona ebintu byabantu olw’enkaayana ku ttaka.Agambye sibakuttira RDC yenna kuliiso enyenyigira mu bikolwa bino omuli n’abo abatunula obutunuzi nga abakozi ba gav’t balya enguzi mu bitundu byabwe.Okwogera bino abadde Kamuli gyeyaweeredde ba abakulembeze n’abasiraamu pikipiki zibayambeko mu ntambula yaabwe.