Muteeseze abantu: Katikkiro akubirizza ababaka ba palamenti
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye ababaka ba Palamenti okwemalira ku mirimu egyigoba obwavu mu bantu ba wansi bave mu by’okuneneng’ana.Katikkiro era ayagala abavubuka n'abakyala okubeera ku mwanjo mu kulima emmwanyi mu bwakabaka. Bino abyogeredde Mawokota bw'abadde alambula abalimi mu disitulikiti y'e Mpigi.