Okubala abantu: Bannayuganda kati baweze 45.935,046
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibalo mu ggwanga kifulumizza ebyakakunganyizibwa ebyavudde mu kubala abantu okwakakomekkerezebwa. Mu byakabalibwa Uganda erimu obukadde 45 era nga abakazi bakyakira ku basajja. Bbyo eby’enkomeredde baykufulumizibwa mu mwezi gw’omwenda omwaka guno.