Okudduukirira abavubuka b'e Kiryandongo: Ab'ekitongole ky'amawanga amagatte basitukiddemu
Ebbula ly’emirimu mu bavubuka, okukozesa ebiragalalagala n’abawala abatanetuuka okufuna embuto bikyeyongera okubobya abakulembeze mu disitulikiti y’e Kiryandongo omutwe.
Kati bano basisinkanye okusala amagezi ebizibu bino bwebagenda okubirwanyisa nga bali wamu n’ekitongole ky’amawanga amagatte ki United Nations [UN] mu nteekateeka etuumiddwa Uganda UN Joint Adolescent and Youth Program.
Obukadde bwa dollar 22 bwebugenda okusaasanyizibwa mu nteekateeka eno.