Okunyweza eby'okwerinda e Nalufenya; abakulembeze n'abataka basaba 'Police post'
Abataka n'abakulembeze abawangaalira mu bitundu bya Nalufenya Jinja City basabye ab’eby’okwerinda bongeremu amaanyi olw’obumenyi bw’amateeka obweyongedde mu kitundu kyabwe. Bano era basabye poliisi okuteeka poliisi post mu kitundu kubwe, kisobozesa okunyweza eby’okwerinda by’ekitundu kubawe. Okwogera bino babadde basisinkano y’okulaba nga bakulaakulanya ekitundu kyabwe.