Okutwalira amateeka mu ngalo, e Mityana agambibwa okubba ente ayokeddwa
Abatuuze ku kyalo Kito mu Sekanyonyi mu disitulikiti y’e Mityana batwalidde amateeka mu ngalo ne bakuba omuvubuka gwebagamba nti bakutte n’ente eteeberezebwa okuba enzibe nebamukuba okutuusa lwebamusse n’oluvanyuma omulambo gwe ne baguteekera omuliro. Atiddwa ye Ronald Sekijje ow’emyaka 26 n’ono yakwatiddwa lubona ng’akukusa ente y’omutuuze mu kiro ekikeesezza olwaleero.