Olwokaano lwa Kawempe North, Erias Nalukoola aweereddwa kkaadi ya NUP
Ekibiina ki National Unity Platform, Kirangiridde Erias Nalukoola Luyimbazi, okukikwatira bendera ku kifo ky’omubaka wa Palamenti owa Kawempe North, nga ono amezze banne omwenda bwebabadde mulw’okaano. Nalukoola asiimye ekibiina okumuteekamu obwesige, n’asaba banne bwebabadde mu lw’okaano okumuwagira, kuba naye kyeyandikoze. Mukukwasa Nalukoola akabonero k’ekibiina ne Bendera ya NUP, pulezidenti w’ekibiina Robert Kyagulanyi, akalaatidde buli muwagizi wakibiina, okunoonyeza omuntu ekibiina gw’ekisimbyewo obuwagizi.