Omwami wa Kabaka ow’omuluka gwa Namataba ategese ekisaakaate okuyambako okunyweza empisa mu baana
Mu kaweefube w’okutumbulamu enkuza y’abaana, omwami wa Kabaka ow’omuluka gwa Namataba, Ssentamu, ategese ekisaakaate okuyambako okunyweza empisa mu baana. Essira lisinze kuteekebwa ku kuyigiriza nnono za Buganda mu miti emito. Ssaabaddu w’eggombolola ya Kira, Frank Ssekalega, agugumbudde abazadde nga bwebalina omukono mu kwonooneka kw’abaana.