Omwana awabira ddi omuzadde mu mbuga z'amateeka
Ensangi zino abaana beegulidde omuze ogw’okutwala bakadde babwe mu mbuga z’amaateeka okusinziira kwebyo bbo byebalowooza ebitagenda bulungi.
Kino oyinza okulowooza nti kivudde ku ddembe eryawebwa abaana ku mulembe guno.
Bannamateeka batubuuludde ddi omwana lwasobola okwekubira enduulu nga bavunaana bazadde baabwe, nabutya bwebasobola okukikola.