Amasomero agaatikkulwa obusolya :Erya Omoringo nakati terifibwangako
Tukyaali mu kaweefube owokukulaga embera yamasomero nga bweri okwetolola ebitundu byeggwanga ebyenjawulo era olwaleero katukulage essomero lya gavumenti eriyitibwa Omosingo Primary School erimaze emyaka 3 nga teririna kasolya oluvanyuma lwenkuba nè kibuyaga eyakattikulako mũ mwaka gwa 2022 nga nokutuka kati abayizi basomera wansi wamiti.Ne wofiisi yomukulu w’essomero lino nayo eri wansi wa muti oluvanyuma lwa wofiisi ye okutandika okukozesebwa nga store omuterekebwa buli kimu.