Poliisi e Kiteezi eyiiriddwa okutangira abatuuze okuseteeza kasasiro
Poliisi e Kiteezi eyiiriddwa okutangira abatuuze ababadde beesomye okugenda okuseteeza kasasiro gwebagamba alemye bekikwatako okumuseteeza. Bagamba okuva enjega lweyagwawo e Kiteezi bategeeza nga bwebagenda okuseteeza entuumu ya kasasiro eyasigalawo kyoka ebbanga liyise nga tewali kikolebwa. Kati babadde baagala bakyekolereko, basobole okudda mu maka gaabwe gebagibwamu.