Pulezidenti Museveni afalaasidde banna NRM mu bitundu by’e Kisoro
Pulezidenti Museveni afalaasidde banna NRM mu bitundu by’e Kisoro okukomya ebikolwa eby'obusosoze mu ddiini kubanga ky'ekimu ku biremesezza okuleetawo enkulaakulana ey'omugundu mu kitundu kyabwe. Museveni agamba basaanidde okulonda abakulembeze awatali bukwakkulizo bwa ddiini oba mawanga naye basinziire ku busobozi. Ono abade mu disitulikiti y’e Kisoro mu kukomekereza okuwenjeza munna NRM Rose Kabagenyi akalulu k’omubaka omukyala owa disitulikiti eno.