Ssabakunzi we ekibiina kya NUP asisinkanye abakulembeze be Masaka
Bannakibiina ki National Unity Platform nga bakulembeddwamu Ssabakunzi wakyo Fred Nyanzi batandise kaweefube w'okukunga bannakubiina n'okuzaawo obukiiko okuva ku byalo mu bendobendo lya Masaka.
Okukola kino kidiridde omubaka wa Nyendo-Mukungwe Mathias Mpuuga eyali amyuka Ssentebe w’ekibiina mu Buganda okutaataganya enteekateeka z’ekibiina mu kitundu kya Masaka.