TWAGALA NNYUMBA ZAFFE : Abaliraanye oluguddo olukolebwa e Busega batabuse
Abatuuze b’e Kabaale Busega mu Gombolola y’e Lubaga abasula okumpi n’oluguudo lwa Old Mubende batabukidde abakulembeze babawe n’abakola oluguudo luno aba “China Construction Campany ltd” olw’ebimotoka byabwe okwonona enyumba zaabwe.
Kati baagala KCCA ebaliyirire, kyoka bbo ba yinginiya ba KCCA bategeezeza nga bwebagenda okudaabiriza enyumba zino.