Empaka z’amasomero; ebisaawe ebigenda okukyaza empaka mu Uganda bikakasiddwa
Ekibiina ekitwala emizannyo gya masomero mu buvanjubwa bwa Africa, FEASSA kikakasizza nga amasomero okuli Amus College ne Bukedea Comprehensive bwegeeteeseteese obulungi okutegeka empaka z’amasomero ga East Africa ezigenda okuggyibwako akawuuwo omwezi ogujja. Oluvannyuma lw’okulambula ebisaawe ebigenda okukozesebwa mu mpaka zino. Bano basabye amasomero gano okwanguyirizaako okulaba nga gamaliriza ebyo ebitanaggwa. Abayizi abasoba mu 3000 okuva mu mawanga okuli Uganda, Kenya, Rwanda, Tanzania, Zanzibar ne Burundi beebasuubirwa okwetaba mu mpaka z’omulundi guno.