Eyakiikirira Uganda mu Olympics yakoze bulungi ebya S.4
Wadde abayizi bangi bagamba nti kizibu okugata eby'emizannyo n'okusoma byombi n'obikola bulungi ye Husna Kukundakwe omuwuzi ku ttiimu y’eggwanga endowooza eno yaginafuyizza bweyasobodde okukola obulungi mu bigezo bya siniya ey'okuna eby'omwaka oguwedde. Husna y’omu ku bazannyi abaakiikirira Uganda mu mpaka za Olympics w’abaliko obulemu ezaali mu kibuga Paris ekya Bufalansa omwaka oguwedde.