Sipiika wa palamenti Anita Among agamba nti singa alondebwa ku kifo ky’amyuka ssentebe wa NRM omukyala, wakwanguyirwa okuteekesa munkola ebiba bisaliddwawoo ekibiina nga yeyambisa entebe y’obwasipiika bwa Palament. Ono ng’avuganya ne Rebecca Kadaga ku kifo kino agamba nti ssentebe w’ekibiina Yoweri Museveni amuyambye nnyo okusigala mu lwokaano.