Rebecca Alitwala Kadaga, y’omu ku bakazi wano b’otamala gayisaamu maaso mu kisaawe ky’ebyobufuzi, era nga mu kibiina ki NRM bw’ayogera buli omu okutu akunkumula.Kyokka olwaleero ali mu kattu k’okufiirwa ekifo kye ng’omumyuka wa ssentebe w’ekibiina omukyala eri munne Anita Among.Bw’oba oli eyo ng’obadde tomanyi Kadaga ono y’ani, ge nkuwa ga nkolwa, kkalira obiggwe ennyalwe ne SAM SSEBULIBA.