Anita Among yeegatta ku byobufuzi by’eggwanga lino mu mwaka gwa 2007. Okuva olwo azze ayita mu ntalo nnyingi, omuli ez’okumeggebwa mu kalulu nga ate ne bwe yakawangula n’alinnya ku bukulu obwa waggulu by’ayiseemu bw’oba wa mutima mutono olekayo.Bino by’ebimu ku bikwata ku mukazi ono eyasitudde olutalo lw’okwezza ekifo kya Rebecca Kadaga nga SOLOMON KAWEESA bw’abirambika.