Akwatidde NRM Bendera ku bwa Pulezidenti Yoweri Museveni atandise okuwenja akalulu mu bitundu bye Karamoja.
Ono asiibye mu disitulikiti ye Karenga abaayo gye bamusiimidde olw’enteekateeka y’okuggya emmundu ku balwanyi b’e Karamoja ekyongedde okutebenkeza ekitundu.
Museveni bano abasabye bamwesige asobole okwongera okunyweza ebyo ebituukiddwako ko n’okubitumbula.
