Olwaleero, akwatidde FDC bendera ku kifo ky’omukulembeze w’eggwanga, Nathan Nandala Mafabi akomekkereza okuwenja obuwagizi mu kitundu Kya West Nile, nga asiiibye akuyega abantu mu disitulikiti y’e Zombo ne Pakwach.
Aba FDC batubuulidde nti bamativu n’omukwano ogubalagiddwa mu West Nile nga kati obwanga baakubuzza ku kulaba butya bwebagenda okuuma obululu bwabwe mu kitundu kino.
