Abatunuulizi b’ensonga balabudde eyaliko Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga obutageza kufuluma kibina ki NRM kubanga kyandimukosa naggyibwako n’ebitono byabadde akyafuna mu kibiina. Bano bagamba nti ono yetaaga yetoowaze asobole okulaba nga azzaawo enkolagana ye n’omukulembeze w’ekibiina ki NRM.Okwogera bino kiddiridde Kadaga okugwa mu kalulu k’ekifo ky’amyuka Ssentebe w’ekibina omukyala eri Anita Among.