Emisango 12 okuva mu kulonda kw’olukiiko olufuzi olwa CEC okwaliwo e Kololo wiiki ewedde gy’egigenda okuwulirwa akakiiko akaateekebwawo Omukulembeze w’eggwanga okuwulira okwemulugunya okuva mu Kulonda kw’ekibiina.Ng’okulonda kuno kuwedde, abantu bangi abavaayo okulumiriza nti kwalimu vvulugu mungi, era nga baatisaatisa n’okwabuulira ekibiina n’abamu okuggya enta mu mirimu gy’ekibiina.Okuwulira emisango gino kutandiika lunaku lwa nkya.