Ekibiina ki PFF kirangiridde nga bwekitagenda kusimbawo muntu yena kuvuganya kukifo ky’omukulembeze w’eggwanga ku kaadi yakyo mu kalulu akabindabinda Wabula Okusinziira ku mwogezi w’ekibiina kino Ibrahim Ssemuju Nganda, bali mu nteeseganya n’e NUP ko ne ANT okulondawo omuntu gwe bagenda okuwagira. Olw’okuba nti okusunsula abeeegwanyiza eky’omukulembeze w’eggwanga kwa wiiki ejja, balina wiiki emu yokka okuba nga bakkaanyizza ku ani gwe bagenda okusimba emabega.