Abaddukanya ekitongole ki National Housing baagala gavumenti ebawe obuwumbi bitaano , batandike okuzimba amayumba ag’ebeeyi eyawansi , kiyambeko okukendeeza ku mugotteko naddala mu bibuga.Bano bagamba nti kitutte ebbanga nga gavunenti tebawa ensimbi za kuzimba mayumba nga gano, kyoka nga uganda etawaana na bbula lya mayumba.Bino babibuulidde ababaka ba Palamenti abatuula ku kakiiko akakola ku byamayumba abakedde okulambula ebitundu ebyetaaga enkulakulana ey’amangu.