Abatuuze ku kyalo Buyala batutte KCCA mu kkooti

Brenda Luwedde
1 Min Read

Waliwo abatuuze ku kyalo Buyala mu disitulikiti ye Muduuma ewayiibwa kasasiro abakubye KCCA ne NEMA mu mbuga z’amateeka nga babalanga kuteeka bulamu bwabwe mu katyaba k’okulwala endwadde eziva ku bujama.Abatuuze bano bagamba nti KCCA yalemwa okutuukiriza byeyeeyama ng’etandika okuyiwa Kasasiro mu kifo kino nga kakano amazzi agava mu kasasiro gakulukutira mu batuuze,ekivundu kibabuzizaako we batuula,songa ne kasasiro yennyini bamutambuza tebamubisseeko.Bano baagala kooti egambe ku KCCA efeeyo ku bulamu bwabatuuze abawangaalira mu kitundu kino.

TAGGED:
Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *