OKUWAMBA AB’OLUDDA OLUVUGANYA: Ssenyonyi atadde gavumenti ku nninga

Brenda Luwedde
1 Min Read

Akulira Oludda Oluvuganya mu Palamenti Joel Ssenyonyi atadde gavumenti ku ninga ennyonyole ku ngeri naddala abavuganya gavumenti gye bakwatibwamu ensangi zino mu ngeri erabika nga ey’okuwamba obuwambi. Bino bigidde mu kaseera nga bannakibiina ki NUP bakwatibwa ku misango gy’okukola duyiro w’amaggye, kyoka nga ababakwata batambulira mu mmotoka ezitali za bitongole bikuuma ddembe ate nga bali mu ngoye za bulijjo. Bino Ssenyonyi abyogeredde mu palamenti ekiwalirizza amyuka Sipiika Thomas Tayebwa okuyita ssabaminisita Robina Nabbanja abitebye.

Share This Article
Leave a review

Leave a Review

Your email address will not be published. Required fields are marked *