EBY’ABWAALA ABAKOLA OBUDDU E DUBAI BIKYALANDA:Akakiiko k’e ddembe ly’obuntu katandise okunonyereza

Brenda Luwedde
1 Min Read

Abakulira akakiiko akalera eddembe ly’obuntu ka Uganda Human Rights Commision batubuulide nga bwebatandise okunonyereza ku katambi akaafulumiziddwa omukutu gwa BBC nga galaga engeri abawala bannayuganda gyebakukusibwamu okutwalibwa mu mawanga ga Buwarabu okukula obwa malaaya Akakulira akakiiko kano Mariam Wangadya agambye nti ensonga eno nabo yabawuniikiriza , kale nga batandise okunonyereza okumanya abali e mabega w’ebikolwa bino eby’ekko. Okwogera bino Wangadya abadde akuliddemu abakulu ku kakiiko kano okuwulira emisango egyekuusa ku kulinyirira eddembe ly’obuntu 13 mu Kampala.

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *