Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda omulamuzi Simon Byabakama ategeezezza nga abaakazza emikono gy’abaagala okusunsulwamu okuvuganya ku kifo ky’omukulembeze w’eggwanga baweze 30. Akakiiko mu kiseera kino kali mu kwekenneenya oba nga emikono gye baleese mituufu kalyoke kalangirire abatuukirizza ebisaanyizo. Mu kwekenneenya, emikono, Byabakama agamba akakiiko kasanzeemu ensobi eziwerako omuli n’emikono gy’abatanneetuuka.