Akakiiko akasunsula abegwanyiza okukwattira ekibiina ki NUP bendera ku bifo by’ababaka ba palamenti bagamba nti olunaku lw’eggulo baagenze mu kkomera e Luzira ne basunsula ayagala okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Nakawa East Waiswa Mufumbiro.Mufumbiro yakwatibwa wiiki ewedde, era ataddewo omulongo we Kenneth Kato okuba nga y’addukanya emirimu gya kampeyini mu kiseera kino.Okusunsula ku kutte olunaku olw’okusatu era nga Bannakibiina okuva e Masaka, Lango ne Tooro bebakubiddwamu tooci olwaleero.