Aba NUP abafunye kaadi y’ekibiina e Masaka bakyasagambya

Gladys Namyalo
1 Min Read

Omubaka omukyala owa district y’e Bukomansimbi Veronica Nanyondo na kati akyassa kikoowe oluvannyuma lw’ekibiina ki NUP okukkiriza okumuddiza kaadi.Nanyondo kata ebigambo bimwonoonekere gyebuvuddeko nga ababaka basonda emikono egiggya obwesige mu babaka abaagabana akawuumbi 1.7 bwe yategeeza nti ye omukono yali agutaddeko mu butanwa.Ku nsimbi zino n’omubaka wa Nyendo-Mukungwe Mathias Mpuuga yagabanako obukadde 500,Mu bitundu ebirala nga Kiboga, waliyo abawagizi abatadde emikono ku kiwandiiko bakiweereze bakama baabwe mu NUP nga beemulugunya ku muntu gwe basazeewo okuwa kaadi okubakwatira bendera.

Share This Article
Leave a review

Leave a Review

Your email address will not be published. Required fields are marked *