Ekitongole ekirondoola omutindo gw’eddagala ki National Drug Authority kiragidde amatundiro g’eddagala gonna mu ggwanga okukoma okutunda eddagala li Bupitroy Heavy 15, erikozesebwa mu kusirisa ababa bagenda okulongooseba, oluvanyuma lw’okukizuula nti terikola. Tukitegedde nti eddagala lino lyaleetebwa aba Abacus Pharm Africa Ltd nga bano kakano babawadde ennaku ssatu zokka okunyonyola yonna gyebalitunda,era bafube okulijjayo mu bwangu ddala.
Ab’ekitongole ky’eddagala baggye Bupitroy Heavy 15 ku katale
0 Min Read
Leave a review

Trending News
Recent Updates
No posts found