Bannansi ba Kenya abaawambibwa, gavumenti egamba temanyi gye bali

Gladys Namyalo
1 Min Read

Kkooti enkulu mu kampala egobye okusaba kwabanamateeka ba balwanirizi b’eddembe abanna kenya ababiri abaabuzibwawo gyebuvuddeko nga bava ku lukungaana lwakwatidde NUP bendera ku bwa president Robert Kyagulanyi sentemu mu buvanjuba bw’eggwanga.Mu nsala ye omulamuzi Simon Peter Kinobe, akatyemudde bwategezezza nti tewali bujulizi bulumika magye police, yadde ekitongole ekikessi kyonna nti bebalina ababiri bano okuli Nicholas Oyoo ne Bob Njagi nga bwekikakasibwa bannamateeka baabano, abenganda nabalwanirizi b’eddembe.Omulamuzi okusalawo bwati kiddiridde bannamateeka bababiri bano abatekayo okusaba mu kooti nga basaba bateebwe awatali kakwakulizo nga bakakasa nti bawambibwa abamagye nga lumu omwezi guno mu district ye Kaliro bwebaali ku lukungana lwa Robert Kyagulanyi. Wabula mu kwanukula,adumira amagye, akulira ebyobukessi mu magye wamu naadumira police bonna beganye okubaako nekyebamanyi ku mayitire gabanna’kenya bano era balayira nti tebabalina mu budukulu bwabwe.

Share This Article
Leave a review

Leave a Review

Your email address will not be published. Required fields are marked *