Bannansi ba Kenya bawambiddwa, baabadde bazze kukuyegera Bobi Wine

Gladys Namyalo
1 Min Read

N’okutuusa kati, mpaawo amanyi ku mayitire ga bannansi ba Kenya babiri abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu abagambibwa okuba nti baabuziddwawo abantu abateeberezebwa okuba ab’ebyokwerinda mu Kkamuli.Bob Njagi ne Nicholas Oyoo baabadde bazze kuyambako munna NUP Robert Kyagulanyi okuyigga akalulu k’obukulembeze bw’eggwanga mu bitundu eby’e Buyende ne Kamuli wabula nti baawambiddwa abasajja abaabadde babagalidde emmundu nebatwalibwa mu kifo ekitannategeerekeka.Ab’ebyokwerinda tebanavaayo mu bulambulukufu okwogera ku nsonga eno wabula nga bannakibiina ki NUP bakakafu nti abakulu bano be baakutte abasajja bano.

Share This Article
Leave a review

Leave a Review

Your email address will not be published. Required fields are marked *