Akakiiko akasunusula abeegwanyiza kaadi ya NUP ku bubaka bwa palamenti bagamba nti bagenda kukola buli ekisoboka okusunsula abantu baabwe abaalaga nti begwanyiza ebifo bino wabula nga mukiseera kino bali mu makomera.
Waiswa Mufumbiro eyeegwanyisa ekya Nakawa East y’omu ku baaggalirwa oluvannyuma lw’okukwatibwa ssabiiti ewedde.
Mu Kampala, ekimu ku bifo ebisinga okubeerako enkalu ky’ekyomubaka omukyala nga wamu omubaka aliko Shamim Malende ne munne bwe battunda Zahra Luyirika buli omu awera nti y’agwaniidde. Atekerateekera ekibiina kino Lewis Rubongoya n’akulira oludda oluvuganya mu palamenti Joel Ssenyonyi be bamu ku basoose mu ssunsuliro.