Kikyali kizibu okutegeera oba nga oludda oluvuganya gavumenti lunaasobola okukolera awamu okusimbawo omuntu omu agenda okulukwatira omumuli mu kalulu ka bonna aka 2026.
Wadde aba PFF ekikulemberwa Erias Lukwago baalangiridde olunaku lw’eggulo nga bwebatagenda kusimbawo muntu ku bwa pulezidenti ,kyokka nga ne gwebanaawagira tebannaba kumukkaanyaako, kyongedde okuleetawo ebibuuuzo ku kwegatta kw’abantu bano.
Waliwo abalowooza nti PFF ne bwenebaako omukago gw’ekola n’ekibiina ekirala tegulina kya maanyi kyegunda kuvaamu.