Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asisinkanye Minisita omubeezi ow’ebyobusuubuzi n’okusiga ensimbi mu Ssaza lye Sharjah erya United Arab Emirates,Sheikh Majid Faisal Al Qasimi ne bakkaanya ku ngeri Buganda gyeyinza okuganyurwa mu nkolagana gye babanzeewo.Bano okusinga baagadde nnyo okumanya bwebayinza okuganyulwa mu mmwanyi ezirimwa mu Buganda.Mu kaseera kano Katikkiro ali mu United Arab Emirates gyeyagenda okusisinkana Abaganda abawangaalirayo,kko n’okusakira Obuganda.