Abategesi b’empaka za Chan balangiridde nti bannauganda kati ba ddembe okusaba tikiti z’omupiira gw’olunaku lw’enkya kubwerere nga tebasasudde okuva ku mukuttu gwa CAF oluvanyuma lwa govermnet okubasasulira tikiti emitwalo ebiri mu kanana.Olunaku lw’enkya mu kisawe e Nambole Senegal egyakuba etunka ne Sudan mu mupiira ogw’okukwata ekifo eky’okusatu ogutandika ku saawa kumi nabiri ekazakawungeeziEbyo nga biri awo bo abakulembeze b’omupiira mu Africa basiimye enteekateeka yekibiina ekifuga omupiira mu Africa ki CAF egenderera okuyambako ebibiina ebifuga omupiira mu mawanga ga Africa okusobola okuyimirizawo omupiira mu mawanga gabwe basobole okuvuganya namaanyi ku mutendera gw’ensi yonna.