Ssabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Dr. Stephen Kazimba Mugalu awabudde abakristaayo e Bundibugyo okukuuma omutindo gw’ekirime ki Kooko okusobola okusigala mu katale k’ensi yonna.Ono bano abasabye n’okwewala okukozesa obubi sente zebafuna mu kilime kino nga badda mu ttamiiro n’okumala abakazi ku kyalo.Kaziimba abadde mu buweereza bw’ekitundu kino obubadde bujaguza emyaka ebiri bukya butongozebwa.