Abamu ku bantu abawangaalira mu ttunduttundu ly’obwakyabazinga bwa Busoga na ddala mu disitulikiti ey’e Kamuli ne Jinja balaze obwennyamivu olw’engeri Ssentebe wa NRM Yoweri Kaguta Museveni gyeyalekeredde omuntu waabwe Rebecca Alitwala Kadaga n’ameggebwa kya bugazi mu kalulu ku kifo ky’omumyuka wa Ssentebe wa NRM w’okubiri omukyala ekyawanguddwa eyamuddira mu bigere ku kya speaker wa Palamenti Anita Among.Bagamba nti NRM obuwagizi bweelina mu kitundu kino buyinza okusalikako kubanga abamu babadde bajiwagira lwa Kadaga gwebabadde balaba ng’omumuli ogubakiikirira mu gavumenti ya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.Waliwo n’abamuwadde amagezi obutaddamu kwesembereza kifo kyonna mu gavumenti ssinga anaaba ayitiddwa okubaako obukulu obumuweebwa.