Ab’ekibiina ki Democratic Front bategeezezza nti sibaakusimbawo muntu yenna ku kifo ky’omukulembeze w’eggwanga yadde okuwagira omuntu yenna oba ekibiina ky’ebyobufuzi ku kifo kino. Bino bisaliddwawo olukiiko lw’ekibiina kino olukulu olwa NEC olutudde olwaleero. Bano bagamba nti essira baakulissa kukuvuganya ku bifo byobubaka bwa palamenti kwossa ne government ezebitundu.