Ababaka n’abantu abalondoola ebyenfuna byeggwanga balaze obweraliikirivu olw’amabanja ga Uganda agalinnya buli lukya ge bagamba ntti gatuuse okuzingamya ebyenfuna mu ggwanga .Alipoota ya Ssababalirizi wa Gavumenti eraga nti amabanja gano gatuuse ku Trillions Kikumi nga bwe buwumbi emitwalo kkumi. Kyokka gavumenti enenyezebwa olw’okwewola wabula netakola ekyo kye yeewoledde so nga nebweba ekikoze, ekikola kasoobo ekiviirako okufiirizibwa .