Gavumenti yakwewola obukadde bwa ddoola za America 400 okusobola okuzimba ebifo awajjanjabirwa ekirwadde ki Kookolo n’okumaliriza oluguudo lwa Busega-Mpigi expressway.
Okusaba kuno abakulu bakuyisizza mu Palamenti ezzeemu okutuula olwaleero oluvannyuam lw’oluwummula lw’ebaddemu.
Ababaka ababaddewo ng’ensimbi zino gavumenti yeegayirira ezeewole bakukkulumye nga bagamba nti ebanja lya Uganda lyandisukka Obuwuumbo emitwalo 10 mu 900 singa ensimbi zino zikakasibwa.